Police eyiiriddwa ku mwalo gwe Kigungu Ntebbe okunoonyereza ku bazigu abakkakanye ku klezia ya Kingungu Mapeera nebajiteekera omuliro mu kiro ekikeseza olwaleero nga 08 November,2024.
Abalumbaganyi bano balumbye nebamenya eddirisa lya eklezia eno ku ssaawa nga 4 ez’ekiro n’agikumamu omuliro, era nga gwatandikidde mu kisenge awaterekebwa engoye z’abassasorodooti nebaziyiira amafuta era nebaziteekera omuliro.
Mutebi Nyansiyo kansala w’ekigungu agambye nti ekibatuuseeko ,kibenyamiza emitima,olw’abantu abatakyatya nnyumba ya Mukama.
Bino webijidde nga klezia yakatandika okwerula empenda z’ettaka lyayo.
Ssentebe wa L.C 3 Entebbe Municipal Council Richard Ssekyondo agambye nti ab’ebyokwerinda batandise okukozesa kamera enkessi, bazuule abakyaamu bano abateekedde enyumba ya mukama omuliro.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif