Abatuuze ku kyalo Kijabijo C mu muluka gwe Kimwanyi Kira Division mu district ye Wakiso basuze kutebuukye oluvannyuma lw’ababbi okulumba ekyalo mu kiro, banyaguludde Supermarket emanyiddwa nga A and W shoppers supermarket, nebalumba n’ebbaala ya Source Bar nebatta omukuumi bw’abadde agezaako okulwanagana nabo nebamusinza amaanyi .
Omukuumi ettiddwa ategerekeseeko lya Kawuulu ng’atemeza mu gy’obukulu 25 .
Mark Mukiibi Sserunjoji kansala akiikirira omuluka gwe Kimwanyi mu Kira Municipality agamba nti abazigu bano babadde batambulira mu mmotoka ekika kya Spacio.
Police n’amgye batabdise okunoonyereza ku ttemu lino.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo