Obukadde bwa shs 150 bwebwabbiddwa abanyazi mu mudumu gwe mmundu mu dduuka lya mobile money ne cente agent mu kibuga Kaliisizo mu district ye Rakai.
Obunyazi buno bwabaddewo kiro ku ssaawa nga nga bbiri ez’ekiro, abakozi b’ekifo kino bwebaabadde babala ensimbi zino, nga bateekateeka okunnyuka.
Kigambibwa nti abasajja abaanyaze ensimbi babaadde 2, bazze besabise olwayingidde mu dduuka nebatulisa ebyasi abakozi nebabuna emiwabo, olwo abanyazi nebayoola omunyago gwabwe nebabulawo.
Edduuka lino lirimu mobile money, ne money agent wa stanbic ne centenary bank.
Kigambibwa nti ensimbi zino kwabaddeko ez’omu mugagga ategerekeseeko erya Dickson omusuubuzi w’ebyennyanja ngazabadde baziweereza bavubi bakole.
Police ye Kyotera ng’eduumirwa Hassan Musooba ne OC we Kaliisizo Tumukunde Emmanuel baze nebasalako ekitundu kyonna,wabula abanyazi baasaanze bakuuliise n’omunyago gwabwe, wabula abakozi tebaabalumizza.
Omwogezi wa police mu bendobendo lye Masaka Twaha Kasirye agambye nti basudde enkessi ezinaabayamba mu bunyazi buno.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi