Abanyazi abatanamanyika bamenye era nebakuuliita n’eddagala eribadde mu tterekero ly’eddagala ery’eddwaliro lya government erya Lwabiyata H IV erisangibwa mu gombolola ye Lwabiyata mu district ye Nakasongola.
Police ekutte omukuumi w’etterekero lino ayitibwa Kazibwe Tibayungana Ronald aweza emyaka gy’obukulu 55, nga kigambibwa nti teyaliiwo ku mulimu abanyazi lwebaamenya etterekero lino ku Sunday ekiro nga 10 march.m2024.
Omwogezi wa police etwala ekitundu kya Savana Sam Twinamazima agambye nti Tibayungana wakuvunaanibwa ogw’okulagajjalira omulimu gwe, era nti n’eddagala eryabbibwa lyali lingi ddala.#