
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kirangiridde abazannyi 3 ebenkomeredde abagenda okuvuganya ku ngule y’omukazi asinze okucanga endiba omwaka guno 2021.
Abazannyi bano ye Daisy Nakaziro ne Fazila Ikwaput aba club ya Lady Doves ne Fauzia Najjemba owa club ya Kampala Queens.
Olukalala lubaddeko abazannyi 5, aba biri basuuliddwa okuli Joan Naggayi owa club ya She Maroons ne Margret Kunihira owa club ya Kawempe Muslim.
Okulangirira omuwanguzi kwa kuberawo nga 4 December ku Speke Resort e Munyonyo, era omuwanguzi wa kwewangulira emmotoka kapyata.
Eno egenda kubeera ngule ya mukaaga nga FUFA esiima abantu abakoze obulungi mu muzannyo gwómupiira okuli omusajja asinze banne, omukommonsi wa firimbi asinze, omutendesi, tiimu nábalala.
Omwaka oguwedde 2020 emikolo tegyategekebwa olwékirwadde kya covid 19 ekyali kikudde ejjembe nómuggalo. Juliet Nalukenge yákyalina engule yómukyala eyasinga banne mu 2019.