Police mu district eye Kamuli ekutte abayizi amakumi 20 n’ebaggalira, ku ssomero lya St.p
Paul Mbulamuti S.S era neggalawo nessomero lino okumala ekiseera ekitali kigere.
Abayizi ku ssomero lino bekalakaasizza nebonoona ebintu by’e ssomero okuli ebizimbe n’ebidduka.
Abayizi ku ssomero lino; bekalakaasizza nga bagamba balya bubi, n’ebisale by’essomero okubeera waggulu, nga baagala n’omukulu w’essomero Jesca Namaganda akyusibwe.
Ayogerera police ya Busoga North Micheal Kasadha agambye nti ebintu by’essomero bingi ebyonooneddwa, era nti abayizi abaakuliddemu okwekalakaasa kuno bakuvunaanibwa.
Omukulu w’essomero Jesca Namaganda, ategeezezza nti batuuse ku nzikiriziganya n’abobuyinza, nategeeza nti essomero lyakuddamu nga 3rd July.
Bisakiddwa: Kirabira Fred