Akulira essomero lya Makerere College School Martin Muyingo agamba nti abaana abawala betaaga okuweebwa obudde okulambikibwa n’okwezuula mu byebakola, lwebasobola okuggyayo obulungi obusobozi bwabwe.
Awadde eky’okulabirako eky’amasomo ga sciences agaatwalibwanga okubeera amazibu emyaka egiyise, nga gakolebwa balenzi okusinga, wabula mu kiseera kino abayizi bonna bavuganya bulungi, era n’abawala bongedde okugayita.
Agamba nti abaana abawala balina obusobozi obusiisira ku kintu nebakiddingana okutuusa nga kituuse ku mutindo gwebagala, ekireetawo enjawulo mu ngeri gyebakolamu ebintu, era ekibayamba okusoma n’okukola amasomo agayinza okulabika ng’amazibu.
Okusinziira ku bigezo bya S.6 ebyafulumiziddwa ekitongole kya UNEB ebya 2023, biraga nti wadde omuwendo gw’abaana abawala gwabadde mutono, naye ate baasinze ku balenzi okukola obulungi eibuuzo.
Amasomo, okuli Chemistry, Biology,Entrepreneurships, CRE, Geography, English Literature, Agriculture ne Fine Art abawala gebaasiinze okukola obulungi.
Ebibalo bya UNEB biraga nti emyaka 3 egiyise egy’omuddiringanwa, abayizi abawala babadde bafuna obubonero obulungi ddala, okusiinga obw’abalenzi.
Headmaster wa Makerere College Martin Muyingo agamba nti wadde abawala balina ebibasoomooza bingi olw’ekikula kyabwe, nti naye bwebalambikibwa n’okuweebwa obudde okuwulirizibwa, basobola bulungi okuvuganya nebasinga n’abalenzi mu kufuna obubonero bwa waggulu.
Abayizi abaasinze okukola obulungi mu Makerere College School baana bawala, okuli Sylvia Nanfuka yafunye 20 ne Annet Atuhaire yafunye 20 points.
Abayizi abasigadde 4 bafunye 19 Points , 17 baafunye 18 points, ate abayizi 22 bafunye 16 points, ate absigadde 168 baafunye obubonero obuli wakati wa 10 – 15.
Mu mwaka 1990 government ya Uganda yasaako enkola mu Universities zaayo okwongeza akabonero ka 1.5 okwongera kwobwo bwebaali bakoze, okubasobozesa okwegatta ku Universities.
Ministry y’ekikula ky’abantu mu kiseera kino eyagala enkola yeemu essibwe ne ku bawala abagenda mu matendekero g’ebyemikono kiyambeko okwongera ku muwendo g’abasoma amasomo gano.
Bisakiddwa: Lukyamuzi Joseph