Abayizi abasoba mu 700 okuva mu masomero 10 bebaganyuddwa mu nteekateeka ya ‘Naffe Tussome omwaka guno 20205.
Baweereddwa ebitabo, geometry sets, pens ne sanitary pads.
Abalala baweereddwa sikaala ku mitendera egyenjawulo, omuli abasoma mu primary, secondary kwossa n’amatendekero agawaggulu .
Enteekateeka ya Naffe Tusome yatandikibwawo omubaka wa parliament omukyala owa district ye Wakiso Betty Ethel Naluyima.
Yava ku muwendo gw’abaana abaafuna embuto nga tebaneetuuka okubeera waggulu mu biseera by’omuggalwo ogwaleetebwa ekirwadde kya COVID 19, nga baali betaaga okuyambibwako basome.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo