Abayizi 4 okuva ku ttendekero lya Buganda Royal institute of Business and technical education Kakeeka Mengo bafiiridde mu kagudde ku luguudo olugenda e Garuga mu town council ye Katabi mu district ye Wakiso.
Babadde boolekera bitundu bye Katomi ku kabaga kabwe, mmotoka mwebabadde batambulira kika kya Toyota Rumeon namba UBH 582/S eremeredde omugoba waayo bwebadde egezaako okuyisa mmotoka kika kya Toyota drone nayo ebadde eweenyuuka obuweewo.
Ekiddiridde emmotoka ya Rumion mwebabadde okuyingirira emmotoka endala kika kya FUFA ebadde eyimiridde ku mabbali g’ekkubo nga ng’etikkula soda.
Abafudde ye Mayanja Joseph, Tumuhimbise Rogers, Ssentongo Hassan ne Ssempebwa House.
Talemwa Kevin, n’omulala ategeerekeseeko erya Frank bali mu mbeera mbi.
Omwogezi wa police y’ebidduka Kananula Michael agambye nti okunoonyereza ku kituufu ekiviiriddeko akabenje kano kutandise, era emirambo gy’Abayizi gitwaaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago, songa ba kkaawonawo bakyafuna obujjanjabi mu ddwaliro e Kisubi.
Ssenkulu w’Ettendekero lya Buganda Royal institute Owek Joseph Balikuddembe Ssenkusu asaasidde abazadde , abasomesa n’abayizi bonna ku ttendekero olwokuviibwako abayizi mu kabenje.
Bisakiddwa: Kato Denis