Abayizi 1,629 abaddamu okutuula ebigezo bya S.4 ebya curriculum enkadde okufuna ebbaluwa ya Uganda Certificate of Education, (UCE), era bazeemu okubigwa, nekimalawo emikisa gyabwe egy’okufuna satifikeeti n’okweyongera ku mutendera oguddako mu kusoma.
Kati kyebasigalidde kwekuddamu buto okusoma S.1 nga bayita mu curriculum empya, oba okusoma eby’emikono babifunemu satifikeeti ezisookerwako.
UNEB yawandiika abayizi 10,141 abaali baddamu okukola ebigezo, era abasembyeyo okutuula ebigezo bya curriculum enkadde, nga baakolera mu bifo 1,028 okwetolola eggwanga.
Ebitundu 43% balenzi ate ebitundu 57% bawala.
Wabula waliwo abayizi 399 abeewandiisa okubiddamu naye era nebatabituula olw’ensonga ezitaamanyibwa.
Abayizi bano olwokuba baali mu nsoma enkadde eyakoma okutuula ebibuuzo bya bonna mu mwaka 2023, abaagwa baddamu okuweebwa omukisa nebaddamu okubituula omwaka oguyise 2024 era ogusembyeyo, kibasobozese okweyongerayo mu matendekero agaddako naye abazeemu okugwa abawera 1,629 ssibakweyongerayo.
Waliwo abayizi 80 abayitidde mu daala erisooka, 503 bayitidde mu lyakubiri, 1,710 lyakusatu, ate 5,820 baayitidde mu lyakuna, ate 1,629 nebagwa.
Uneb eraze nti abayizi abaliko obulemu abaddemu ebibuuzo baali 44 nga 20 baali balenzi ate abawala baali 24.
Dan Odongo, ssenkulu wa UNEB agamba nti abayizi abalenzi mu bibuuzo bya curriculum enkadde bakoze bulungi okusinga ku bawala.
Odongo agambye nti mu curriculum eno, waliwo era abayizi abasoba mu 200 abaakwatiddwa ebibuuzo byabwe, bakyanoonyerezebwako nga bateeberezebwa okuba nga benyigira mu kukoppa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis