Munnamateeka era omulwanirizi w’eddembe lyobuntu Dr.Sarah Bireete agamba nti government tenaba nambulukufu ku bannabyabufuzi bezze ekwata nebavunaanibwa mu kooti z’amagye, ate abantu berumiriza okubeera abayeekera n’ abattujju ate nebawozesa mu kkooti zabulijjo.
Bireete agamba nti eky’okuwozesa abantu ba bulijjo mu kooti z’amagye kikolwa kyakulinnyirira ddembe lya buntu.
Wabula Minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj.Gen Kahinda Otafiire agambye nti abayeekera n’abattujju aboogerwako, nti bwebaali bakwatibwa tebaasangibwa nabyakulwanyisa era tebeefulangako bannamagye kyebava babawozesa mu kooti za bulijjo.
Bannakibiina kya NUP abasoba mu 30 okuli omuwala Olivia Lutaaya , okuva mu mwaka 2021, bawozesebwa mu kkooti y’amagye ku misango nti egyokusangibwa n’ebintu by’amagye.
Oludda oluvuganya government mu parliament nga lukulembeddwamu alukulira Owek.Mathias Mpuuga Nsamba lwayanjudde okusaba mu parliament ,abawagizi ba NUP abavunaanibwa mu kkooti y’amaggye bagyibweyo batwalibwe mu kkooti z’abantu babulijjo, wabula okusaba kuno government yakusimbidde ekkuuli.
Mu ngeri yeemu n’abantu abazze babuzibwawo government egamba nti emanyiiko 9 bokka berina mu makomera gaayo abalala temanyi bibakwatako.
Ab’oludda oluvugabya government gyebuvuddeko, baazira entuula za parliament nga balumiriza government okweefuula kyesirikidde ku nsonga za bannansi ababuzibwawo, abasibiddwa mu makomera okumala ekiseera ekinene ku nsonga z’ebyobufuzi.#