CBS FM ng’ekolera wamu n’ekitongole ky’obutonde bw’ensi mu ggwanga ekya NEMA bawaddeyo ebirabo ebisiima abawukiriza ba CBS FM abawera 30 abazze baddamu ebibuuzo ebikwata kukukuuma n’okutaasa obutonde bw’ensi, mu nkola eyatuumwa “Kuuma Obutonde Bw’ensi”.
Abawuliriza bano babadde bebataba mu kazannyo k’okuddamu ebibuuzo ebibuuzibwa mu ppulogulaamu Ssanyuka The Heart Beat ku 88.8, eweerezebwa omumbejja w’Obutonde Iryn Nakiweewa, okuva ku ssaawa kkumi na bbiri okutuuka ku ssaaw bbiri ez’akawungeezi, okuva ku Monday okutuuka ku Friday.
Ebirabo bibakwasiddwa ku wofiisi za NEMA mu Kampala.
Ssenkulu wa NEMA DR. yebazizza Ssaabasajja Kabaka eyalagira abantu be okunyiikira okusimba emiti mu kaweefube w’okuzzaawo obutonde bw’ensi.
Asabye abawuliriza ba CBS okubunyisa enjiri y’okukuuma obutonde bw’ensi n’okuloopa ababwonoona.