Omuwendo gwabakyala abakyafiira musanya okweyongera okulinnya gweralikirizza Eklezia katuulika mu Uganda, ekitanudde abavubuka mu ssaza ekkulu erya Kampala okubaako kyebakola.
Okusinziira ku alipoota eyafulimizibwa ekitongole kyebyobulamu eky’ensi yonna ki World Health Organisation nga bali wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsonga z’abaana munsi yona ekya UNICEF yalaga nti ensonga ezisiinga obungi eziviirako abakyala okufiira mu ssanya zisobola bulungi okwewalika.
Mu mbeera eno Essaza ekkulu erye Kampala nga lyetegekera okukuza olunnaku lw’abavubuka munsi yonna olunabeerawo nga ennaku z’omwezi 24 November, litegese emisinde mubuna byalo nga’ennaku z’omwezi 09 November,2024, okusonda ensimbi okugula ebikozesebwa okuyambako abakyala mu ddwaliro lya St Luke Konge health centre III okuzaala obulungi.
Bwana mukulu wa St Joseph Konge parish Rev Fr Denis Ssekamaanya agamba nti ebikujjuko by’olunaku lw’abavubuka ebigenda okubeera mu Vicaliet ye Mitala Maria, bigendereddwamu okusitula omutindo gw’eddwaliro erikozesebwa abantu abangi, ssonga ebikozesebwa byakekwa.
Dr. Nakazibwe Prossy akulira eddwaliro lino erya St Luke Konge Health Centre III agamba nti basaanga akaseera akazibu okuzaalisa abakyala olw’ebbula lyebikozesebwa ekiteeka obulamu bwabanakazadde b’eggwanga mu matigga.
Dr Nakazibwe agambye nti abakyala bangi bajja mu ddwaliro nga tebalina yadde akagoye kebayinza kutandikirako okuteeka kubmwana ekiviirako abaana okumira n’okukosebwa embeera endala.
Ssabavubuka we Mitala Maria Kayondo Robert Ndawula agamba nti abavubuka okuva mu vicaliet 4 ezikola essaza ekkulu erye Kampala bonna bagenda ku kungaanira ku st Balikuddembe e Mitala Maria ku lunaku olwo.
Emijoozi egyokuduka emisinde gino gyateereddwa kubuli parish eziri mussaza lye Kampala ku shillings 15000
Bisakiddwa : Tonny Ngabo