Baannauganda 23 abaali baawambibwa abayeekeera e Myanmar banunuddwa era nebakomezebwawo ku butaka.
Abavubuka bano baali baasuubiziddwa emirimu mu mawanga ag’enjawulo okuli Malaysia, Thailand n’awalala nga bayita ku mitimbagano, wabula bwebaatuuka eyo baasibira mu mikono gy’abayeekera abaabakunguzza okutuuka mu nkambi zabwe e Myanmar.
Oluvannyuma lw’ebbanga nga balaajana, government ya Uganda yakwatagana n’amawanga amalala saako ebitongole nebanunulwa.
Bakomezeddwawo mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines nga bawerekerwako omubaka wa Uganda e Malaysia Betty Bigombe.
Baaniriziddwa omuteesiteesi omukulu mu ministry ekola ku nsonga z’amawanga amalala Vincent Waiswa Bagiire, omukungu w’ekitongole ky’ensi yonna ekya International Organisation for Migration (IOM) Sanusi Tejan Savage era nga bebataddemu ensimbi okubakomyawo.
Bagiire ategeezezza nti abavubuka bano baanunulwa mu mwezi gwa March, 2024, olwo ekitongole kya IOM nekyetikka obuvunaanyizibwa bw’okubalabirira, okubajanjabisa n’ebirala okutuusa lwebakomezeddwawo.
Ambasador Betty Bigombe agambye nti waliwo abalala abali eyo mu 14 abagambibwa okuba nga nabo bakyali mu mikono gy’abayeekera e Myanmar mu nkambi ezenjawulo.
Abavubuka bano okusinga bakozesebwa abayeekera okufera abantu n’ebitongole nga bayita ku mitimbagano.#