Abatuuze abawangalira ku mwalo gwe Bugiri mu town council ye Katabi mu district ye Wakiso bawanjagidde government ng’eyita mu ministry y’ebyobulamu okubateerawo eddwaliro mu kitundu, okubataasa okutindigga olugendo olusuka kirometer 8 nga banoonya obujjanjabi mu ddwaliro lya government e Entebbe .
Abatuuze babadde basisinkanye abakakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso, nebategeeza nga bwebakaluubirizibwa okufuna obuweereza bwa government ekiviirako n’abamu ku bakyala ab’embuto okuzaalira awaka.
Kasujja David ssentebe w’ekyalo Bugiri- Kiwulwe asabye government nti mu kiseera kino nga tenabawa ddwaliro, wakiri yandibadde ebateerawo Ambulance ey’obwereere okusobola okuddusa abalwadde mu malwaliro okufuna obujjanjabi obw’amangu .
Sentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye agamba nti government ekyalemeddwa okugonjoola ensonga ezinyigiriza abantu abawangalira ku myalo n’ebizinga.
Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu Wakiso kasazeewo okusooka okuteekateeka olusiisira lw’ebyamateeka mu ku mwalo gw’e Bugiri nga 15 March,2025 okwongera okuwuliriza ensonga ezinyigiriza abavubi .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo