Abatuuze be Ntuunda mu district ye Kyankwanzi ababadde batasalikako musale bakkakkanye ku musibe Ssenkula Amon ne nebamulirika emigobante egimusse, ng’abadde ateberezebwa okutta abafumbo ababiri Ssentongo Awali ne mukyala we Ayebare Doreen.
Abafumbo bsno baaatemulwa mu kiro ekyakeesa olwomukaaga lwa 14 February,2026.
Ssenkula Amon abadde yakwatiddwa police ng’emukuumira ku police y’e Ntuunda.
Ssenkula okuttibwa yabadde akkirizza nti yeyatta abafumbo, era nga police ebadde emuzizza ku kyalo gyeyaddiza emisango mu kibira ekisangibwa ku kyalo Bakulimya gyeyakukunuddwa okwongera okubalaga obujjulizi bw’ekiso kyeyakozesa.
Kigambibwa nti nga police yakamutuusa mu kibira kino, ekibinja ky’abantu okuva e Ntuunda nga bataamu bakirako enjuki bazingirizza abasirikale ba police nebabaggyako omusibe nebamukuba naafa.
Omwogezi police owa Wamala region- SSP Lameka Kigozi agambye nti police etandise omuyiggo ku bantu abatwalidde amateeka mu ngalo, nabo bavunaanibwe ogw’okutta omuntu n’okutaataaganya emirimu gya police.
Bisakiddwa: Ssebuguzi Kkaana













