Ministry yeebyentambula n’enguudo erabudde abantu abatonzeewo obutale ku makubo geddaabirizza nti yaakubakolalo ebikwekweto n’okubasengula.
Minister w’ebyentambula n’enguudo, Gen. Edward Katumba Wamala, mukwogerako ne Cbs agambye nti amakubo mangi naddala mu Kibuga Kampala neemiriraano, gebakola era agazimbiddwa obulungi n’okutundirwa kw’emyaala ate abantu batandise ku gafuula butale.
Gen. Edward Katumba Wamala, agamba nti abantu bwebafuula amakubo obutale, kiviirako obubenje olw’abantu abamu okuba nti tebakyasobola kutambulira ku mabbali g’ekkubo ne ku myala ejitindiddwa ekiruubirirwa ky’okukola amakubo nekifa.
Gen Katumba Wamala agamba nti bagenda kukola ebikwekweto okufuuza abantu abatundira ebyamaguzi byabwe ku mbalama zaamakubo gano mukifo ky’okugenda mu bifo ng’obutale government bwetaddewo.
Agambye nti ministry yakukolera wamu n’ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority, (KCCA).
Awabudde abagoba ba bodaboda, abagufudde omuze okumenya amateeka gookunguudo nti nabo baviirako nnyo obubenje era nti basanidde okwerinda amateeka amajja.
Bisakiddwa: Ddungu Davis










