Abakulu mu club ya KCCA eya Uganda Premier League, bawadde nsalessale wa mipiira 3 gyokka eri abatendesi ba club eno Brian Ssenyondo ne Jackson Magera okutaasa omulimu gwabwe.
Mu Uganda Premier League KCCA egenda kuzaako okuzannya ne club ya BUL, Buhimba United ne Police, nga emipiira gino bateekeddwa kugiwangula, okwewala okugobwa ku mulimu guno.
Obunkenke bungi ddala mu club ya KCCA olw’omutindo ogw’ekiboggwe club gweriko ensangi zino, nga naabawagizi bangi batandise okuwanvuya amaloboozi bagaala abatendesi bano bagobwe.
KCCA emipiira 2 egisembyeyo okuli ogwa NEC ne Entebe UPPC gyombi ekubiddwa bukubwa, ekintu ekyayongedde okusannyalaza emikisa gya KCCA okuwangula ekikopo kya season eno.
Ensonda ezesigika zigamba nti abakulu mu KCCA bangi begwanyiziza eyaliko omuzannyi era omutendesi wa club eno Omulangira Sam Ssimbwa Bamweyana okutwala omulimu guno.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe











