Abesikoopi mu Uganda mu kibiina ekya Uganda Episcopal Comfrence basitudde okwolekera ekibuga Vatican e Roma mu ggwanga lya Italy, ku Lugendo olutongole olubeerawo buli myaka etaano.
Mu lugendo luno Ab’episikoopi munsi yonna bakuηηaanira Vatican okwegayirira n’okulamaga ku Malalo ga Batume Petero ne Paulo.
Okusinzira ku Nnaambika y’eklezia Abasumba bakusisinkano Omutukuvu Papa Leo XIV okuwa Alipoota ku ntambuza y’emirimu mu Masaza g’Eklezia g’ebakulembera saako okukubaganya ebirowoozo ku mirimu gy’obutume gyebaliko.
Olwaleero Abepisikoopi 18 okuva mu Uganda basiimbudde mu kiro ekikesezza olwaleero nga 14 March,2026 okugenda Vatican okwegatta ku banaabwe abaabasokayo.
Olukiiko lw’Abepisikoopi mu Uganda lukubirizibwa Omusumba w’e Kiyinda Mityana Rev.Anthony Zziwa.
Rev Fr.Phillip Ngendo nga asinzira e Roma ategezeezza nti okulamaga kuno kwa Nnono mu ekeleziya era waliwo bingi ebigenda okukolebwa abepisikoopi .
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius











