Omulamuzi wa kooti esookerwako mu district ye Bukedea asindise abasirikale ba police 5 mu komera, okutuusa nga 27 omwezi guno ogwa July,2023 lwebanadda okwewozaako ku bigambibwa nti benyigira mu mivvuyo gyona egyali mu kalulu k’okujjuza ekifo kya Ssentebe wa Lc 5 mu district ye Bukedea.
Abasindikiddwa mukomera kuliko akulira eby’obukeesi mu district eyo Ehguloiti Alex ,omumyuka wakulira okunonyereza ku misango Oriokot Simon Peter ,police constable Akankwasa Onesmas, Police constable Kamakoin Difas saako police constable Naibeu Born.
Kigambibwa nti Ehguloiti Alex yakozesa ekifo kye okwenyigira mu mivuyo, naakutuuka n’okukozesa abasirikale okulumba amaka g’omu ku baali ba Agent beyali yesimbewo, Omagor Steven okugezaako okubba ebiwandiko bye ne ensimbi ne kigendererwa ekyokumulemesa okwesimbawo.
Bano era bavunanibwa okukaalakaala ne mmundu kika Kya SMG ne bagenda nga batiisatiisa abantu mu kitundu, nga nabakuuma ddembe abalala mu kitundu baatya okubagambako.
Akulira eby’obukeesi e Bukede Ehguloiti Alex avunanibwa okubulankanya fayiro z’abantu ezitali zimu, n’okugezaako okwagala okuta abantu.
Kigambibwa nti waliwo beyasiba mu kadduukulu nabata nga balina ebisago, ekiteberezebwa nti baakubibwa.
Abasirikale bano 5 baakwatiddwa ku biragiro bya akulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka g’obwa president aka Anti Corruption Unit, Brig Gen Henry Isoke, oluvanyuma lwa President Museveni okumulagira okukola okunoonyereza ku mivuyo gyonna egyali mu kalulu e Bukedea.
Ensonda mu kakiiko ka Anti Corruption Unit zitubulidde nti waliwo abakungu abalala mu police mu kitundu ekyo, bebakyanoonyerezako era singa bafuna obukakafu obubalumika bakufulumya amanya gabwe era bavunanibwe mu mateeka.
Okulonda Ssentebe wa District eyo kwaddibwamu oluvannyuma lw’okufa kwa Moses Olemukan, era akakiiko akavunanyizibwa kulonda aka Electoral Commission nekategeka okulonda okulala nga 14 June,2023.
Owa NRM Mary Akol ye yalonddebwa nga Ssentebe wa LC 5 omujja owa district ye Bukedea.#