Abasirikale ba Paapa mu Uganda bakungubagidde omuttuvu Paapa Francis omutonzi gweyaggye mu bulamu bwensi ku myaka 88, oluvanyuma lwakabanga nga atawanyizibwa obulwadde.
Dr Kasozi Mulindwa director General wa Uganda management Institute nga yoomu ku bantu abagundiivu mu ddiini y’Obukatoliki Paapa Francis beyalonda mu Uganda okubeera abasirikale be, agambye nti okufa Kwomuttukuvu Paapa Francis kwabasanyalazza ng’abasirikale be.
Dr Kasozi Mulindwa agambye nti Paapa Francis abadde ddoboozi ly’abanaku munsi yonna.
Dr. Emmanuel Katongole nga naye yoomu ku bantu abakoleredde ennyo eddiini y’Obukatoliki mu Uganda, Paapa gweyalonda nga omusirikale we, agambye nti mu myaka 12, Paapa gyabaddewo abadde mulwanirizi wa mirembe mu nsi yonna
Dr.Emmanuel Katongole agambye nti Paapa abadde ddoboozi ly’abanyigirizibwa munsi yonna.#