Abasibe abawera emitwalo 78,959 bebakuumibwa mu makomera ga Uganda gonna, nga ku bano abasukka mu mitwalo 40,000 baasalirwa.
Waliwo abasibe 6032 abawerennemba n’emisango egy’okubanjibwa ensimbi, saako n’abakyala abali mu makomera nga balina abaana bali 333, ng’abasibe bonna bakuumibwa abasirikale abasukka mu 14,000.
Akulira ekitongole ky’amakomera mu ggwanga Johnson Byabashaijja alagidde abasirikale bamakomera okwewala okweyingiza mu byobufuzi ebyongedde okutinta,nabawa gabuwa okusigala nga batambulira ku mateeka agabafuga okwewala okufiirwa emirimu.
Ekitongole kyamakomera kinokoddeyo omusirikale wakyo Ampe Lawrence akolera mu kkomera erisangibwa mu bitundu bya Ngora, nti azze akola obutambi bw’ebyobufuzi ku mukutu gwa tiktok n’emirala, nti ekintu kyamanyidde ddala nti kikontana n’amateeka mwakolera, era okumunonyerezako kwatandise.
Omwogezi w’ekitongole ky’a makomera Frank Baine asinzidde mu lukuηaana lwa banamawulire ku kitebe kya police e Naguru, nategeza nti tebagenda kukkiriza musirikale yenna kuteeka byabufuzi mu makomera era anakikola wakuvunanibwa mu mateeka abeere ekyokulabirako eri abalala..
Mungeri yeemu ekitongole kya makomera kizzemu okulabula abantu okubeera obulindaala eri abafeere abatandise okutambuza amawulire ku mutimbagano okuwuddiisa abantu, nti ekitongole kiwandiisa abakozi era nti abetaaga bateekeyo okusaba kwabwe.












