Akakiiko akalondoola ensonga za bamusiga ensimbi aka State House Investors Protectorate Unit kataandise okunoonyereza ku bakungu mu government abagambibwa okuba nti benyigira mu kubuzaabuza ba musigansimbi abajja mu ggwanga, nebakomekkereza nga babanyaze wamu n’okubalemesa okutandikawo emirimu.
Kizuuliddwa nti abanyaga ba musigansimbi babasindikira mmotoka ez’ebbeeyi ezibanona ku kisaawe, oluvannyuma nebabatwala mu zi woteeri gyebakutulira omupango gwabwe.
Mu ensisinkano ne banamawulire etudde ku kitebe ky’akakiiko ka State House Investors Protectorate Unit mu Kampala, akakulira Col. Edith Nakalema bw’abadde ayanjula obuvunanyizibwa bw’akakiiko n’ebigenderebwa ebyakasisaawo, ategeezezza nti bakwataganye n’abatwala ekisaawe kye nnyonyi Entebbe saako abatwalala eby’okwerinda okulondoola abantu abo.
Akulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka gwobwa President aka Anti Corruption Unit Brig. Gen Henry Isoke asinzidde mu ensisinkano yemu ne yebazza Col Nakalema olwobuvumu bwalina mukulwanyisa enguzi n’amusuubiza nti bakukolera wamu okumalawo obuli bwenguzi mu ggwanga.
Alipoota za Ssaababalirizi w’ebitabo bya government ezizze zikolebwa zizze zinokolayo ebitongole bya government okubeera ku mwanjo mukubwebwena enguzi mu bantu.#