Nga 10 October buli mwaka, ensi yonna yeefumiitiriza ku kibonerezo ky’okuwanika abasingisiddwa emisango ku kalabba, wabula amawanga mangi teganakiggyawo, nga ne Uganda mwojitwalidde.
Ekibiina ky’amawanga amagatte kizze kivumirira enkola eno, nti kubanga terina kigendererwa kya kuwa kyanya muntu asingisiddwa omusango okweddako n’okwekwekuba mu kifuba.
Bagamba nti akalabba kalinnyirira eddembe ly’obuntu ery’okubeera omulamu.
Uganda yeemu ku mawanga 55 mu nsi yonna agakyalina ekibonerezo ky’akalabba.
Ssenkulu wa Foundation for Human Rights Initiatives Dr. Livingstone Ssewanyana agamba nti ekiseera kyatuuka dda government ya Uganda okuggyawo ekibonerezo kino olw’ebirumira enkumu ebikirimu.
Ssewanyana agamba nti mu kaweefube wabwe owookusaba government ya Uganda okuggyawo ekibonerezo kino, tebagamba nti abantu bongere okuzza emisango wabula baagala kuzza mitima gy’abantu abo abakwatibwa nga bateeberezebwa buteeberezebwa.
Omwaka 2022 wegwaggwerako ng’abasibe 28,282 bebaali balindiridde okuwanikibwa ku kalabba mu nsi yonna!
Amawanga agasinga okuwanika abasibe ku kalabba kuliko Iran, Saudi Arabia, Somalia, America ne Iraq.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.