Abantu 9 bafiridde mu kabenje akagudde ku luguddo oluva e Jinja okudda e Iganga mu district ye Mayuge ,motoka ya taxi No. UBE 939H bwetomedde lukululana No. RAC 603Q/1055 ekibadde kyafiridde ku kubbo.
Kigambibwa nti omugoba wa taxi abadde avuga ndiima kwekwekanga ekimmotoka ekibaddr kisimbe ku kkubo nga tekiriiko kabonero konna kalabula.
Omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga Kananura Micheal agambye nti abantu 4 bafiriddewo mbulaga 5 bafudde baddusibwa mu ddwaliro e Iganga okufuna obujjanjabi ,6 bavuddewo n’ebisago eby’amaanyi.
Abafudde kubaddeko omuto ow’emyezi 5 egyobukulu, abakyala 3 n’abasajja 5.#