Bannabyabufuuzi 5 bebakasuunsulwa okuvuganya ku kifo kya Lord Mayor wa Kampala mu kalulu akajja aka 2026, ate nga n’abalala bakyajja.
Abaakasunsulwa, kuliko Engineer Ronald Balimwezo Owa NUP, Ibrahim Kasozi Owa FDC, Beatrice Mao Owa Dp, Nabiira Naggayi Ssempala azze ku bwa nnamunigina ne Namujuzi Nashiba bamulagidde addeyo ajjuze ebiwandiiko bye, nga naye talina kibiina kwajjidde (Independent).
Mu mbeera yeemu wakyaliwo nebanabyabufuzi abalala bangi abakyegwanyiza obwa Lord Mayor, okuli Lord Mayor aliko Ssalongo Erias Lukwago owa PFF ne Moses Kizito Nsubuga owa NRM nabalala.
Engineer Ronald Balimwezo eyesimbiddewo ku Card ya NUP olumaze okusunsulwa nategeeza nti essira wakulissa kukutumbula omutindo gw’ekibuga nga emgineer omutendeke, n’okuteekerateekera abatembeeyi baleme kugobwa ku nguudo nga tebasoose kubateekerateekera.
Bisakiddwa: Musisi John












