Banna Kibiina kya FDC 4, bebaakaggyayo empapula okuvuganya ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga mu kalulu ka 2026.
Mu baggyeyo empapula mwemuli Ssabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafaabi,Dan Matsiko,Usaama Ssemwogerere ne Malinga Gerald.
Enteekateeka eno ey’okuggyayo empapula z’okuvuganya ekomekerezebwa ku Friday nga 02 May,2025.
Okusinziira ku Ssemateeka w’ekibiina kya FDC , okubeera President we Kibiina tekitegeeza nti gw’olina okuvuganya obutereevu ku bukulembeze bwe ggwanga, ng’olina okuyita mu kuvuganya nabalala mu kibiina munda.
Ssentebe w’akakiiko k’e byokulonda muFDC, Benefance Toterebuka Bamwenda, agambye nti ku mulundi guno abegwanyiza okukwatira ekibiina bendera ku bwa Presidenti beyongedde, akabonero akalaga nti ekibiina kyeyongedde amaanyi.
Omubaka wa Soroti city west Jonathan Ebweru, nga yagyiddeyo Ssaabawandiisi w’ekibiina, Nathan Nandala Mafaabi empapula agambye nti akaseera katuuse akwatire ekibiina bendera kubwa President, kubanga obusobozi abulina.
Dan Matsiko nga naye eggyeyo empapula okukwatira FDC bendera, agambye nti bakooye abakulembeze abagezaako obugeza obuvuganya okukyuusa obuyinza, nti ye azze okuwangula obukulembeze bw’e ggwanga.
Usaam Ssemwogerere naye awera nti tewali kuwananya bendera ya FDC agenda kujikwata
Mungeri yeemu Nampala we kibiina kya FDC mu parliament era omubaka akiikirira Mawokota South, Yusuf Nsibambi, atiisizatiisizza okutwala akakiiko ke by’okulonda mu kooti, nga akalanga okukwata ensonga y’enkalala z’abalonzi mu ngeri gyebayise eyekisaazi, eviiriddeko bannauganda bangi okuba nga tebaweereddwa mukisa kugenda kukebera nkalala mu bifo gyebalondera.
Sabiiti ewedde akakiiko k’ebyokulonda kaafulumya entekateeka ya bannayuganda okutandika okukebera amannya ku nkalala mu bifo gyebewandiisa okulondera, nga wabula okusinziira ku ssentebe wa kakiiko ke byokulonda, omulamuzi simon Byabakama, ebifo ebisukka mu 600, mu bitundu byeggwanga enkalala zaali tezinafulumizibwa olwebyuuma ebizikuba okukyankalamu.
Ku nsonga eno omubaka Yusuf Nsibambi, ategeezezza bannamawulire ku Parliament nti abantu mu bitundu ebyenjawulo okuli ne Mawokota gyakiikirira beemulugunya nga bebuuza ebigendererwa bya kakiiko ke byokulonda.
Nsibambi ategeezezza nga bwebawaliriziddwa okukuba akakiiko k’ebyokulonda mu mbuga z’amateeka, kanyonnyole kwekaasinzidde okufulumya enkalala, kyokka ng’ezisoba mu 600 nezitabaako.
Wabula akulira akakiiko kebyokulonda Omulamuzzi Simon Byabakama, ategeezezza nti bagenda kukola ekisoboka okulondoola ebizibu bino babinogere edagala, era sabye omubaka Nsibambi ne banne, okusooka okwogera nabo basalire wamu amagezi.