Police mu Kampala ne miriraano ekutte abantu abasukka mu 300, nga bateeberezebwa omwenyigira mu bumenyi bwamateeka obulala mu nnaku zino enkulu ez’amazuukira.
Abakwatte police tenafulumya mannya gabwe, naye bakuumibwa ku police zomukampala ne miriraano basuubirwa kusunsulwamu olunaku lw’enkya,abamu bayimbulwe ku kakalu ka police abasigadde basimbibwe mu kooti.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala ne miriraano Luke Owesigere ategezeza cbs radio yobujjaja nti babadde bafunye amawulire nti waliwo ababadde bateekateeka okutaataganya ebikujjuko bya pasiika.
Agambye nti amawulire gano kwebasinzidde okukola ebikwekweto eby’amaanyi naddala mu budde obw’ekiro.
Mungeri yemu police etandise okunonyereza ku kabenje akagudde mu kitundu kye Wamatovu- Katende ku luguudo oluva e Makasa okudda e Kampala.
Akabenje kano kaaguddewo ku saawa nga bbiri mu kiro ekikeseza leero, abantu 4 nebalugulamu obulamu.
Okusinzira ku omwogezi wa police ye bidduka Farida Nampiima, akabenje kano kaabaddemu mmotoka fuso namba UBB 288,piikipiiki bajaj boxer namba UAV 002 S ne mmotoka Premio namba UAV 137E.
Nampiima agamba nti abagenzi mwabaddemu abakyala babiri n’abasajja babiri.