Abantu 3 bateeberezebwa okuba nga bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Katooke Kawempe mu Kampala.
Akabenje kano kaguddewo saawa bbiri ez’enkya ya leero nga 29 April,2025, emmotoka No.UAX 858M kika kya Dayana ebadde yetisse amatooke bweremeredde omugoba waayo wakati mu lukuba olubadde luwandagirira najiyingiza ekizimbe.
Kigambibwa nti ku mmotoka kubaddeko abantu bana nga bewanise ku matooke, 3 bafiiridde ate omu addusiddwa mu ddwaliro ng’akoseddwa nnyo.
Abamu kubeerabideko ku kabenje kano bagamba nti emmotoka yandiba nga egaanye okusiba era dereeva alwanye nyo obutasaabala bantu babadde beggamye enkuba.
Police etuuse mu kitundu kino okusikayo emmotoka eyingidde ekizimbe ky’amaduuka, n’okwetegereza ekivuddeko akabenje.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif