Police mu district ye Nakaseke etandise okunoonyereza ku kabenje akafiiriddemu abantu 3 ku makya nga 03 February,2026 ku luguudo oluva e Luweero okudda e Butalangu.
Akabenje kagudde ku kyaalo Kasana mu Kabuga ke Kiwoko mu distroct ye Nakaseke.
Okusinziira ku mwogezi wa Police mu ttundutundu lya Luweero ASP Sam Twiinamazima, emmotoka Taxis No.UA 746CH ebadde ettise abasabaze ng’eva e Ngoma ng’edda e Luwrero etomereganye bwenyi ku bwenyi n’ekimota ekinene ki Tata o. UBJ 081B ekibadde kitisse emiti.
Tata ebadde eva ku ludda lw’e Luweero ng’edda Butalangu, wabula abagoba b’emmotoka zombi olumaze okukola akabenje nebadduka.
Abagenzi kuliko abasabaze babiri okuli Joy Kasigwire abadde atemera mugyobukulu 22, Nathan Nuwenyine nga bombi batuuze ku kyalo Kyabiguru wamu ne Martin Kigongo abadde atemera mugyobukulu 43 ngono ye abadde mu Tata, ate abalala 13 balumiziddwa bya nsuso.
Abakoseddwa baddusiddwa mu ddwaliro Lya Kiwoko Hospital okufuna obujanjabi obusingawo, ate emirambo gitwaliddwa mu ddwalira ekkulu mu Nakaseke okwongera okwekebejjebwa ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.#
Bisakiddwa: Taaka Conslata













