Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mpigi, loole lukululana eremeredde dereeva waayo,olwo embaawo eza ply wood zeebadde yeetisse neziyiikira abantu ababadde ku mabbali g’oluguudo.
Loole lukululana ebaddeko number za Kenya KDA 706 F ebadde eva ku ludda olw’e Masaka ng’edda ku ludda olwe Kampala, kyokka bwetuuse mu koona erisangibwa ku kyalo Mawonve okumpi n’ekibuga kye Mpigi, dereeva ekkoona limulemye okuweta olwo enkoba ezaasibye embaawo za ply wood nezikutuka, embaawo zonna neziyiika okukakkana nga zigwiiridde abantu.
Omwogezi wa police mu kitundu ekye Katonga nga ye Karim Majid agambye nti abafudde ye Musoke Richard 50, Makanika Kiryowa 54 ne Katende akola mukitongole kyamazzi e Mpigi.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick