Emirambo 23 gyejakannyululwa mu mazzi, n’abantu 40 banunuddwa,ekidyeri mwebabadde basaabalira bwekibayiye mu mazzi ku nnyanja L.Kivu mu Domocratic Republic of Congo.
Ekidyeri kino MV Merdi ekibadde kitisse akabbindo, kibadde kiva mu kitundu kye Minova, nga kibadde kibuzaayo akabanga katono kigobe ku mwalo gwe Kituku mu Goma.
Abavubi n’amagye ga DRC gayambyeko okutaasa abantu 40 abagudde mu nnyanja, emirambo 23 gyegyakannyululwayo, wabula ng’omuwendo gw’abantu omutuufu ogubadde ku kidyeri tegunamanyibwa.