Abantu 8 bafiiridde mu akabenje akagudde mu kitúndu kye Kiteredde mu Karengero mu district ye Lwengo, ebadde eva Rukungiri ng’edda Kampala.
Abantu abalala 30 bafunye ebisago nebaddusibwa mu malwaliro agaliranyeewo.
Babadde batambulira mu Bus eya Kkampuni ya Kasaba No. UAL 492H, etomereganye ne loole tata UBH 031Q bwenyi ku bwenyi mu kiro ekikeesezza leero nga 07 April,2026.
Omwogezi wa Police mu bitundu bye Masaka Twaha Kasirye, agambye nti Police etandise okunoonyereza ekyivuddeko akabenje kano, era nga mu bafudde mubaddemu n’omusirikale wa police.
Twaha Kasirye agambye nti okutwaliza awamu abantu 12 bebafiiridde mu bubenje obugudde mu kitundu kye Buddu, mu nnaku za Easter.#













