Abantu 10 bateeberezebwa okuba nga bafiiridde mu kabenje ddekabusa akagudde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende, taxi ebadde edduka Obuweewo bweetomedde Bus ya Link.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Kyakatebe mu district ye Kassanda, taxi No.UBQ 154R ebadde eva e Kampala ng’edda Mubende, bweetomedde Bus ya Kampuni ya Kalita No. UBE 535H.
Bino okugwaawo kigambibwa nti omugoba wa taxi egudde atategeerekese mannya, abadde agezaako okuyisa emmotoka ssatu omubadde ne Lukululana.
Wabula olw’enfuufu enjeru nÁmayinja amangi agayiibwa mu Luguudo luno Omugoba wa taxi tasobodde kulaba mmotoka emuva mu maaso.
Omugoba wa Bus ya Link Sulaiman Snake, agambye nti olulabye Taxi ng’eyisa kwekusiba, era taxi olulemereddwa neeyeekuba ku Bus.
Abatuuze ku kyalo Kyakatebe ababaddewo nga akabenje kano kagwaawo omuli Daniel Lumala ne Denis Onyaiti, bategeezezza nti embeera oluguudo luno mweluli mbi nnyo, lujjudde Amayinja nÉnfuufu, ekiteeka abakozesa oluguudo mu katyabaga.
Basabye minister wÉbyentambula Gen Edward Katumba Wamala ayise ebiragiro eri kampuni ya Energo eyaweebwa Contract okukola oluguudo luno, ebeere ng’eruyiwamu Amazzi buli kiseera.
Abamu ku basimattuse akabenje kano baddusiddwa mu malwaliro okuli erye Kiganda ne Mityana, era nÉmirambo gitwaliddwa mu malwaaliro geegamu.
Bisakiddwa: Kato Denis












