Radio CBS etongozza Bbingwa w’ebyemizannyo ow’omwaka guno 2023, era omukolo gw’okutongoza Bbingwa ono gubadde ku club Ambiance e Bukesa mu kibuga Kampala.
Bbingwa zibeera mpaka ez’okuddamu ebibuuzo ebikwata ku byemizannyo okuyita ku mpewo A CBS FM, era enteekateeka eno yatandika mu mwaka gwa 2005.
Bbingwa w’omwaka guno agenda kutandika nga 03 July,2023 olwo akomekerezebwe nga 05 August mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende.
Bbingwa ayawulwamu emiteeko 3 okuli Bbingwa wabaana abato eyatuumwa Bbingwa Toto, Bbingwa Extra ow’okuvuganyiza mu kibinja ne Bbingwa wa Mabbingwa ow’okuvuganyiza mu kibinja.
Okuwandiika abagenda okutabwa mu Bbingwa omwaka guno kukomekerezebwa nga 16 June 2023.
Akulira ebifulumizibwa ku mpewo za CBS, Al Hajji Abby Mukiibi Nkaaga, bw’abadde akulembeddemu okutongoza Bbingwa ono, asabye abantu ba Kabaka okwongera okuwagira enteekateeka za CBS nga betaba munteekateeka zaayo, era nabasaba okujja mu bungi mu kisaawe e Kitende mu kuggalawo Bbingwa.
Amyuka ebifulumizibwa ku mpewo za CBS 89.2, Martin Oscar Kintu, akinogaanyizza nti CBS erina enteekateeka nyingi ezizimba abavubuka zebatekeddwa okujjumbira era nabebaza okuwagiranga CBS.
Abavugirizi abakulembeddwamu Njovu Estate Developers Limited era Batte Gerald okuva ku kampuni eno yebaziza nnyo CBS olw’enkolagana ennungi e kiseera kyonna, nakakasa nti omuwanguzi w’omwaka guno wakufuna ekyapa kye ttaka.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe