Bannakyewa abali ku ddimu ly’okulwanyisa ebiragalalagala mu Uganda basabye watekebwewo etteeka erikaka abaana bamasomero bonna okukeberwa nga ebiragalalagala mu mibiri gyabwe buli lusoma, nti osanga kino kinayambako okukendeeza emisinde ebiragalalagala kwebisasaniira mu bavubuka n`okusingira ddala mu baana ba’masomero.
Mu Lukungana olw`omulundi ogw`okusatu olutegekeddwa aba Drugs Hapana, ku hotel Africana mu Kampala.
Lwetabiddwamu abakulembeze b’abayizi, banakyewa nabakulu mu government olutumiddwa The 3rd National Prefects Conference, bonna bakkaanyizza nti ddala kituufu kyetagisa abaana bamasomero okubakebera ebiragalalagala ku buwaze.
Abakulembeze b’abayizi bakubiriziddwa okubeera ekyokulabirako n’okusomesa bannaabwe obubi obuli mu kozesa ebiralagalalagala.
Dr Hafuswa Lukwata Ssentongo akulira okujanjaba endwadde z’emitwe n`okulwanyisa ebiragalalagala mu Ministry yeby`obulamu, ekirowoozo kino akisiimye era nagamba nti agenda kukitusaayo mu government.
Aggrey Kibenge Omuteesiteesi omukulu owa ministry y’abakozi n’ekikula ky’abantu, agambye nti wakyaliwo obwetaavu bw’amaanyi okwanganga ekizibu kino ekyebiragalalagala mu baana bamasomero.
Annie Ssebunnya Omuweereza ku CBSFM era nga ye Ssenkulu w’ekitongole ky`Obwanakyewa ekya Drugs Hapana, agambye nti mu kawefube gwebalimu bakizudde nti abayizi bagunjizaawo obukodyo obupya mwebakukusiza ebiragalalaga okubiyingiza mu masomero.
Agambye nti bakwongera amaanyi mu kukwatagana n’abaana ba ghetto babayambeko mu kulwanyisa omuze guno ogw’ebiragalalagala.
Abakulembeze b’abayizi aboogeddeko ne Cbs batubuulidde nti baliko bingi byebayize era bagenda kuddayo babisomese bayizi banaabwe.
Bisakiddwa: Musisi John