Ekibinja ky’abalamazi 124 okuva mu ssaza ly’eKereziya Katolika ery’eKabale kisuze mu kibuga Lukaya mu district ye Kalungu, boolekera Namugongo.
Ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga kitaddewo olutindo olw’ekimpatiira, nga kiri wamu ne kampuni eyakwasiddwa omulimu gw’okukola olutindo olwabbomoka ku mugga Katonga ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala, kisobozese abalamazi okusomoka omugga beyongereyo e Namugongo.
Abalamazi abaasoose okutuuka mu Katonga l baasanze okusoomozebwa olw’okubula webayitira nebasalawo okwebaka okumpi n’olutindo mu kkubo wakati.
Olutindo olw’ekimpatiira olussiddwawo luyitibwako bantu batambuza bigere bokka abava ku ludda olw’e Masaka.
Okusinziira ku mwogezi wa UNRA Allan Ssempeebwa, olutindo lw’ekimpatiira lwakunjibwawo ng’olunaku lw’e Namugongo luwedde, okusobozesa emirimu gy’okuzzaawo olutindo olunene okutambula obulungi.
Olunaku lw’abaajulizi e Namugongo lukuzibwa buli nga 03 June.#