Police yakakwata abantu 29 abateeberezebwa okukkakana ku musirikale wa police PC Chemonges Sulaiman nebamukuba nebamutta mu district ye Ibanda.
Chemonges ng’abadde akolera ku police ye Bisheshe mu district ye Ibanda yabadde asindikiddwa okukuuma abakungubazi mu kuziika mu kitundu ekyo.
Omwogezi wa police Rusoke Kituuma agambye nti byebaakazuula biraga nti abatuuze baamulumbye ku saawa nga munaana ogw’ekiro ne bamukuba okutuusa lwebaamusse.
Baamuteeberezza nti yoomu ku baakwata munabwe Kahangire Nyabuhikye eyafiiride mu kkomera lya government e Ibanda wiiki ewedde.#