Abakulembeze ba National Unity Platform okuli John Mary Ssebuwufu, omumyuka w’akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina, ; Dr Lina Zedriga omumyuka wa president w’ekibiina atwala obukiika kkono, Jolly Jacqueline Tukamushaba omumyuka wa president atwala obugwanjuba, ne Bright Muhumuza omukwanaganya w’ekitundu kye Mbarara.
Abakulu ba babadde baabuzibwawo ng’akalulu k’okulonda president n’ababaka ba parliament akaaliwo nga 15 January,2026 nga kaakaggwa.
Baleeteddwa mu kooti nga 06 February,2026 nebaggulwako emisango gye gimu egy’okwogera ebigambo ebikuma omuliro mu bantu mu biseera eby’okunoonya akalulu ka 2026.
Kigambibwa nti baaduumira bannakibiina kya NUP okutuusa obulabe ku bawagizi ba NRM.
Ssebuwufu asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Sanula Namboozo, amusindise ku alimanda e Luzira oluvannyuma lw’okwegaana emisango egimusomeddwa.
Oludda oluwaabi lugamba nti Ssebuufu emisango yajizza wakati wa November ne December,2026 mu bitundu bya Kampala,Mukono,Masaka ne Mpigi.
Omuwaabi wa government Mahatima Odongo ategeezezza kooti nti bakyalina ebirala bingi byebakyanoonyereza ku Ssebuufu.
Bannamateeka ba NUP abakulembeddwamu Jonathan Elotu, Kakuru Tumusiime ne John Paul Kakande, basabye omulamuzi amuyimbule ku kakalu ka kooti, wabula omulamuzi abategeezezza nti okusaba kwabwe baddemu bakuteekeyo nga 17, February, 2026.
Bannamateeka ba NUP balaze obutali bumativu n’ekisaliddwawo omulamuzi, nga bagamba nti omuntu wabwe okuva lweyakwatibwa nga 14 January, 2026 mu kiro ekyakeesa olunaku lw’okulonda, abadde taleetebwanga mu kooti.
Ssebuufu yalondeddwa ku kifo kya kansala akiikirira Nakawa ku lukiiko lwa KCCA, ng’ali mu komera.
Ne banne abalala 3 basimbiddwa mu kooti ez’enjawulo gyebaakwatibwa, nebasomerwa emisango gye gimu era nebasindikibwa ku alimanda.
Babadde bakamala wiiki 3 ng’abantu babwe tebamanyi gyebakuumibwa, oluvannyuma lwa police n’amagye okutegeeza nti babadde tebamanyi bantu bano gyebali.
Bisakiddwa: Betty Zziwa











