Abakulembeze b’amawanga agalima emmwanyi ku ssemazinga wa Africa bateseteese okusisinkana okutema empenda ez’okunnyikiza ennima y’emmwanyi eri ku mutindo.
Bakusisinkanira ku Speke Hotel E Munnyonyo mu Kampala Uganda, mu lukungaana lw’amawanga agalima emmwannyi olwa G-25 Africa Coffee Summit olugenda okutuula okuva nga 8 okutuuka nga 10 August 2023.
Minister w’eby’obulimi, obuvubi n’obulunzi Frank Tumwebaze agambye nti abakulembeze b’amawanga agalima emwannyi okuli Uganda,Ethiopia, Tanzania, Angola, Guinea Bissauo, Gabon n’amawanga amalala bebasuubirwa okwetaba mu lukungaana luno.
Minister Frank Tumwebaze abadde ku media Centre erya Uganda gambye nti olukungaana luno lwakuyamba amawanga gamo okwekubamu tooci n’okusalira wamu amagezi ku ngeri y’okusitula omutindo gw’emmwanyi goongere okuzifunamu ekiwera.
Mu lukungaana luno abakulembeze b’amawanga basuubira okuyisa enkola ey’okugatta amawanga gano eyitibwa Kampala Coffee Declaration n’amateeka aganaagoberwa ku nsonga ey’okutumbuula obulimi bw’emmwanyi.
Maj Gen David Kasura Kyomukama omutesiteesi omukulu owa Ministry y’eby’obulimi, obulunzi n’obuvubi agambye nti olukungaana lw’amawanga agalima emmwannyi lugidde mu kaseera nga Uganda eyongedde okusajjakula n’okussa essira ku nteekateeka y’okusitula mutindo gw’emmwanyi.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico