Ababbi ba pikipiki ababadde bagezaako okutta omugoba wa Bodaboda mu nkuba ekedde okufudembya bakiguddeko, abadduukirize babakubye emiggo omu asigaddeko kikuba mukono.
Kigambibwa nti ababbi befudde abasaabaze ng’enkuba efudemba.m nebapangisa owa bodaboda okuva e Mutundwe mu Kampala.
Bwebatuuse e Nalukolongo abasaabaze nebamwefuulira nebamukuba kalifoomu, wabula abantu ababadde beggamye enkuba babalabye nebakuba enduulu.
Abagoba ba bodaboda abalala banguye okutaasa munnabwe abadde akubiddwa kalifoomu ng’atagalira mu kkubo, ababbi babadde babiri omu nadduka, ate omulala bamukutte nebatandika okumulirika emiggo n’ensambaggere.
Police mu bwangu nayo eyitiddwa n’ekakkanya embeera.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif