Abakozi ba district ye Mubende 3 basindikiddwa ku alimanda gyebanaava bewozeeko ku bigambibwa nti balagajjalira omulimu gwabwe ogw’okulondoola omulimu gw’okuzimba eddwaliro lya Kibalinga Health Center III.
Abasimdikiddwa mu kaduukulu kuliko John Baptist Muzibira – District Engineer ,Kamya John Birungi – Civil Engineer ne Ssendikaddiwa Vito Bosco akolanga akulira eby’obulamu nga kigambibwa nti bekobaana nebakola omulimu mu ngeri ya kanaggweramu eyo, ogwali ogw’okuzimba Maternity ward abakyala webazaalira, n’ekifo ekirala abalwadde webatuukira.
Basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 30 April,2024 lwebanadda bewozeeko.
Bisakiddwa: Betty Zziwa