Ssenkulu wa CBS radio Omukungu Michael Kawooya Mwebe awadde amagezi eri abakozi ba CBS okwenyigira mu kulima emmwanyi n’okulunda, okwongera ku nnyingiza yabwe n’okwekulaakulanya.
Abakozi balambudde abamu ku balimi n’abalunzi ab’amaanyi mu district y’e Lwengo okulaba engeri gyebakolamu emirimu babayigireko, ate n’okumanya engeri gyebakozesaamu amagezi agabaweebwa abakugu abakyazibwa ku mpewo za CBS.
Mu bubaka bwatisse Omukungu Male Busuula omukwanaganya w’abawuliriza CBS, Ssenkulu wa CBS Omukungu Kawooya Mwebe agambye nti kibeera kikulu nnyo abakozi bw’Obwakabaka nabo bwebatandikawo ennimiro n’ebifo gyebalundira okwongera ku nnyingiza yaabwe ate n’okubeera eky’okulabirako eri abantu abalala.

Mu balimi bebalambudde mwemubadde Mayor we Kinoni Town Council, Kizito Mbaaga ng’ono mulimi wa mmwaanyi, Director wa Chicken Paradise Farm Keffaasi Mugabi omulunzi w’enkoko ez’amagi era ng’ate mulimi wa mmwanyi mu bungi , era yemutandisi w’essomero lya Apex Nursery and Primary School Lwengo.
Kefaasi Mugabi agambye nti buli muntu yandibadde afaayo okubaako nekyatandika mu butono, n’agenda ng’ayongerako okusinziira ku busobozi bw’abeera afunye nti lwebajja okutuuka ku kiruubirirwa.

Mayor Kizito Mbaaga ye asabye abavubuka okukomya okwetundako ettaka lyabwe wabula ettaka balikozese okulima emmwanyi n’ebitooke.
Mu ngeri yeemu abalimi n’abalunzi mu district y’e Lwengo basabye Radio ya Ssaabasajja Kabaka okwogera okulabula bannauganda ku ddagala ly’ebicupuli erituundibwa ku katale ka Uganda eriviirako abalimi n’abalunzi okufiirizibwa.

Kansala wa Kinoni Town Council Nampijja Nuliat asabye abakozi ba CBS nti byebasomye mu kulambula emmwaanyi n’okulunda nabo okubiteeka munkola balime balunde kubanga okulima kukyusa ebitundu.
Abalimi abalala okuli Nakanwangi Jane mulimi wa mmwaanyi ne Joseph Kalibbala e Kinoni alundira ente ewafunda bagamba nti ekikyasinze okubasomooza ly’eddagala effu.
Abamu ku bakozi ba CBS Fm okuli Samula JohnPaul,Evelyn Ntono, Ssaalongo Ddamulira, munnalwengo Balikuddembe Joseph, Wasajja Mahad, Juliet Namubiru n’abalala bagambye nti okulambula kuno kubawadde amagezi amaggya gebagenda okukozesa okwongera okukubiriza abawuliriza, nabo bennyini okubaako byebakola okwongera okukyusa omutindo gw’obulimi n’obulunzi.