Alipoota y’akakiiko eyavudde mukwekeneenya embalirira ya ministry y’ekikula ky’abantu ekyali mu bubage,kakizudde nti abakadde abawera 270,203 babanja ensimbi zabwe, zebaalina okuwebwa mu mwaka gweby’ensimbi 2020/2021.
Abakadde babanja obuwumbi bwa shs 27 ez’omwaka ogwo, government zeyalemererwa okuwaayo.
Ebbanja lino lye limu ery’obuwumbi 27, libadde teriteereddwa mu mbalirira y’omwaka ogujja 2022/2023.
Akakiiko kalagidde nti ministry eyongerweko obuwumbi 53,zisasuleko ebbanja eryo, endala obuwumbi 26 zisasule abakadde abasussa emyaka 80 mu mwaka gw’ensimbi ogujja 2022/2023, era nga nazo zaabadde teziteereddwa mu mbalirira.
Akakiiko kano akalondoola ekikula kyabantu mu alipoota yaako eyanjuddwa omubaka omukyala owa district ye Kyegegwa Flavia Kabahenda, kasabye government ebeeko ebitongole byesalako sente,esasule abakadde.
Government ng’eyambibwako abagabirizi b’obuyambi, buli mwezi ewa abakadde abasussa emyaka 80, shs emitwalo 25,000/- zibayambeko okufuna ebyetaago.