Nga abakristu n’abakrisitaayo beetegekera okukuza olunaku lw’abajulizi nga 3rd June e Namugongo – abakatuliki balamaze mu lugendo lwebayise olw’okutambulira mu kukkiriza – Walk of Faith.
Olugendo luno lubadde lwakujukira abajulizi abaafiira mu bifo ebyenjawulo nga tebaatuuka Namugongo.
Okutambula kwetabiddwamu abalamazi abasoba mu 300, kukulembeddwamu Bishop w’essaza lye Fortportal Bishop Robert Muhiirwa wamu ne minister w’ebyobulambuzi mu ggwanga Col.Tom Butime.
Basimbudde Ku klezia y’abajulizi e Munyonyo eya Uganda Martyrs Catholic church, nga wano wewattirwa omujulizi Andereya Kaggwa mu kaseera kano nga ye muyima w’abasomesa mu bibiina n’abasomesa eddiini.
Batuseeko mu kifo ewattirwa Denis Ssembuggwawo nga kino kiri kinya n’ampindi ne klezia y’e Munyonyo – Denis Ssebugwawo ye muyima w’abayimbi.
Batuseeko e Kyaamula awattirwa omujjulizi Ponsiano Ngondwe, ono yafumitibwa amafumu asatu mu kifuba, omubiri gwe negulekebwa awo ensega nezigulya.
Mu Kisenyi ku njegoyego z’akatale ka St. Balikuddembe akaayitibwanga Owino,awo battirawo Joseph Balikuddembe – kati omuyima w’abanabyabufuzi n’abakulembeze ab’ennono.
Joseph Balikuddembe ye mujulizi eyasooka okufa mu bakatuliki ng’ennaku z’omwezi 15th November, 1885.
Kumpi awo n’omujulizi omulala Atanansi Bazzekuketta naye weyattibwa – ono yeemuyima w’abakola mu byensimbi n’ebibiina by’obwegassi.
Ekifo ekirala kyebatuseemu kyekya Mengo – Kisenyi, nga wano omujjuluzi eyasemberayo ddala okutiibwa nga 31st January . 1887 Yoana Maria Muzeeyi weyatemebwako omutwe.
Yoana Maria Muzeeyi yeemuyima w’abasawo.
Okulamaga kuno kufundikidde Old Kampala ku Klezia ya St.Matia Mulumba, ono emujjulizi awolereza amaka n’abafumbo .
Mukuyimba Missa eggaddewo okulamaga kuno Bishop Muhiirwa asabye abakkiriza okwongera okussabira eggwanga n’abantu kinoomu abayita mukusoomoozebwa okutali kumu.
Bisakiddwa : Diana Kibuuka
Ebifaananyi:Musa Kirumira