Police mu district ye Mayuge ekutte abasajja babiri nebaggalira ku CPS e Mayuge, balangibwa kutambuza bicupuli bya sente okwetoloola district.
Aduumira police e Mayuge Sp Agnes Annyu agamba nti office ye ezze efuna okwemulugunya okwenjawulo ku basajja bano, era bamaze akaseera nga babalinnya akagere.
Amyuuka RDC Mayuge Nagaya Kigaanira agamba nti abatereddwako obunyogoga kwekuli Mpaata Ibrahim 32 ne Musasizi Nickolas 26 agambibwa okukulembera abatambuza ebicupuli. #