Abavubuka 110 abagambibwa okuba bannakibiina kya NUP basimbiddwa mu kooti ya Mwanga II ne KCCA Magistrate court, nebaggulwako omusango gw’okwenyigira mu bikolwa eby’okugezaako okutabangula eggwanga, oluvannyuma lw’okulonda kwa bonna okwa 2026.
Abavubuka bano baakwatibwa wakati wa 15 ne 17 January,2026 mu Kampala.
Basomeddwa emisango gy’okugezaako okulumba emmotoka za police ennawunyi, okweyisa ng’ekitagasa, okukuηaana mu ngeri emenya amateeka n’okwekobaana okuzza emisango.
Kigambibwa nti abaakwatibwa mu Quarter Zone e Kamwokya bekobaana nebakuηaana mu ngeri eyali ey’okuleetawo obutali butebenkevu mu kitundu, n’okutiisatiisa abantu ng’akalulu kawedde.
Abalala baakwatibwa Kkomamboga nga kigambiobwa nti baali bakumye ebipiira mu nguudo n’okuziba enguudo nga bwe bayiimba ennyimba ezigamba nti NRM yali ebbye akalulu.
Bino byonna babyegaanye nebasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 28 January,2026.
Akalulu ka 2026 kaawanguddwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni naddirirwa munna NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Abalala abaavuganya ye Nandala Mafaabi owa FDC, Mugisha Muntu wa ANT, Frank Buliira yajja wa Revolutionally People’s Party, Robert Kasibante wa National Peasants’ Party, Mubaraka Munyagwa wa Common Man’s Party, Elton Joseph Mabiriizi wa Conservative Party
Bisakiddwa: Betty Zziwa










