Ababbi abazinze akabuga ke Kiriri mu ggombolola ye Mpenja mu district ye Gomba nebamenya amaduuka limu ku limu, abatuuze nabo babafundirizza basseeko omu.
Ababbi bano tebanamanyika muwendo, ng’abatuuze bakutteko 2, omu bamusse omulala police emutaasizza nga takyasobola kwogera.
Wabula bwe babadde babakuba, omu ategeezezza nti babadde bavudde mu kitundu kye Kanoni mu Gomba.
Ssentebe w’egombolola ye Mpenja Ssegiriinya Tom agambye nti obubbi bweyongedde nnyo mu kitundu, ng’abasiinga babeera n’ebiso, nasaba police eyongere okulawuna ekitundu mu budde obw’ekiro.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick