Ababaka ku kakiiko ka parliament akalondoola eby’amateeka bawakanyizza enoongosereza government zeyanjudde mu parliament okwongeza omuwendo gw’abalamuzi mu kkooti ensukulumu ne kkooti ejjulirwamu.
Minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi era omukulembeze wa DP Norbert Mao ku lwa government yayanjula ennongosereza mu tteeka lya Judicature Act n’ekigendererwa eky’okwongeza omuwendo gw’abalamuzi okuva ku balamuzi 15 aba kkooti ejjulirwamu okutuuka ku balamuzi 55, n’okwongeza omuwendo gw’abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu okuva ku balamuzi 11 okutuuka ku balamuzi 21
Gavunent egamba nti okwongeza omuwendo gw’abalamuzi ekikola okukendeeza ku muwendo gw’emisango egyetuumye mu kkooti.
Mu nsisinkano y’akakiiko Ka parliament ak’amateeka, omubaka wa Bugweri Abdu Katuntu era munnamateeka akinogaanyiza nti emisango okwetuuma mu kkooti kiva ku nkola y’emirimu etategekeddwa bulungi mu ssiga eddamuzi, n’obunafu bw’abalamuzi.
Awadde eby’okukabirako eky’amawanga agali yadde yaddeko ng’omuwendo gw’abantu mungi okusinga Uganda, agalina abalamuzi abatono, kwekwebuuza Uganda kyebala ekituufu okwongeza omuwendo ogwo, nga n’ensimbi ezokubayimirizaawo oluuusi ziyinza okubula.
Akakiiko k’eggwanga akavunaanyizibwa kukwekeneenya amateeka aka Uganda law reform Commission nga kakiikiriddwa ssentebe waako Pamela Tibihikira, nako kawakanyizza ekyokwongeza omuwendo gw’abalamuzi government bweyagala.
Pamera Tibihikira agambye nti ensonga government zeewa okwongeza omuwendo gw’abalamuzi ssi za ssimba naagamba nti omuwendo ogwo mungi nnyo okusinziira ku byenfuna by’eggwanga.
Mu nsisinkano y’akakiiko kano, tewali mubaka wa ludda luvuganya government yenna agyetabyemu, songa ku babaka abasoba mu 30 abatuula ku kakiiiko kano, ababaka 4 bokka bebagyetamyemu.#