Parliament ebadde ekubaganya birowoozo ku mbeera y’amalwaliro ga Uganda bweyimiridde, ababaka abamu mwebabuulidde parliament nti amalwaliro ga government agali mu bitundu byabwe gali mu mbeera mbi, ekitadde obulamu bwabanauganda mu matigga naddala banakazadde b’eggwanga.
Omubaka wa Aruu County Christopher Komakech ategeezezza parliament nti mu kitundu gyakiikirira, eddwaliro lya government eririyo lirina ebitanda bibiri byokka abakyala kwebazaalira, ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga.
Omubaka wa Bukoto South Twaha Kagabo wasinzidde nategeeza parliament nti balekere awo okutesaanga buli kadde ku bintu ebitamala mu malwaliro, wabula ekyetaagisa kwekukubirizza abantu babwe bebakiikirira okwettanira ennyo enkola ey’ekizaala ggumba baleme kubonabonera mu malwaliro nga bagenze okuzaala buli kaseera.
Wano kalumanywera wavudde , omubaka wa Igara west Mbwatekamwa Gaffa naamwambalira olw’okugezaako okuwabya parliament ne bannauganda, ng’ate enkola eyekizaala ggumba omubaka Dr. Twaha Kagabo gyayogerako nayo yetsagisa bakyala kugenda mu malwaliro okusobola okufuna obuweereza bwenkola eyo, era nga m umalwaliro bwemutaabe bikozesebwa era abakyala tebajja kufuna bujjanjjabi bwetaagisa.
Sipiika wa parliament Anitah Annet Among wasinzidde okunenya omubaka Kagabo okuwabya abakazi nti bave ku by’okuzaala ng’ate ne bbayibuli ewagira eky’okuzaala, agambye nti buvunaanyizibwa bwa government okutuusa obuweereza obusaanidde ku bannauganda.
Bisakiddwa: Edithie Nabagereka












